Song of Solomon 4:11-14

11 aEmimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange;
amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo.
Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 bOli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange,
era oli luzzi olwasibibwa
Enzizi zaasibibwanga okukuuma amazzi gaamu nga mayonjo.
, ensulo eyateekebwako akabonero.
13 dEbimera byo nnimiro ya mikomamawanga,
erina ebibala byonna eby’omuwendo,
ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 en’omugavu ne kalikomu,
ne kalamo ne kinamoni,
n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna,
ne mooli ne alowe,
wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
Copyright information for LugEEEE